Skip to content Skip to footer

Okunonyereza kwa Daily Monitor kulaga nti abomu Bugwanjuba Bawagira Ennongosereza

Bya Benjamin Jumbe

Olupapula lwa Daily Monitor luliko okunoonyereza kwelwakoze n’ekizuuka ngababaka abava mu Bugwanjuba bwe gwanga bebasinga okuwagira ekyokujja ekomo ku myaka gyomukulembeze we gwanga bwogeregeranya ne banaabwe abava mu bitundu ebirala.

Okunonyereza kulaga nti  ababaka 53% bawagira ensonga eno,  ate ekitundu ky’amambuka nekiddako ngeno ababaka 45 % nabo bagala ssemateeka akwatibwako.

Ebitundu ebirala ebye nkizo kuliko Obuvanjuba bwe gwanga, nemu masekati, nga bano ebyokukola ennongosererza zino bibawunyira ziizi.

Mungeri yeemu okunonyereza kulaze nti ababaka abakyala bebasinga okuwagira ensonga eno bwogerageranya ne banaabwe abasajja.

Kati oluvanyuma twogedeko nakulira ekibiina ekya Center for Constitutional Governance Sarah Birete nagamba nayogera ku alipoota zino.

Leave a comment

0.0/5