Bya Ruth Anderah
Abakulira ebibiina ebivuganya gavumenti 3 baddukidde mu kooti enkulu nga bagala eyimirize palamenti obutagenda mu maaso okuteesa ku byokujja ekkomo ku myaka, okujjawo ennyingo 102(b) eya ssemateeka.
Bano bagamba kinaaba kikyamu awatali kwebuuza ku bantu babulijjo mu kalulu akekikungo.
Abamu ku baddukidde mu kooti kuliko, Dr. Abed Bwanika owa People’s Development Party (PDP), Asuman Basalirwa owa JEEMA ne Ken Lukyamuzi owa Conservative party.
Mu mpaaba yaabwe bagamba nti akalulu kekikungo kokka kebayinza okuyitamu okudda mu bantu okufuna endowooza zaabwe era neziwulirwa.
Presidenti wa PDP Dr. Abedi Bwanika ategezezza nti yategezaako akakiiko kebyokulonda wabeewo akalulu kekikungo ku byokujja ekkomo ku myaka mu June womwaka guno wabula bamwanukula oluvanyuma lwemyezi 4 mu mwezi gwe kkumi ngomubaka Rapheal Magyezi amaze okwanjula ebbago lye.
Agamba nti bamulagira akunganye emikono gyabanna-Uganda akakadde 1 nekitundu naye poliisi nemugotaanya bwebabowa byeli yakafunako.
Mu balala bebawabidde kuliko nakakiiko akebyempuliziganya aka UCC.
Omumyuka womuwandiisi wa kooti Sarah Langa wabula tabadde ku kooti, okulaga ddi omusango guno lwegunatandika okuwulirwa.