Skip to content Skip to footer

E Gulu Kasattiro ka Marburg

Experts demonstrate how the personal protective equipment are dressed to guard against contracting Ebola and Marburg virus. PHOTO BY ROBERT MUHEREZA (1)

Mu ddwaliro lye Lacor bwerinde bwenyini oluvanyuma lw’omulwadde atwaliddwawo nga ateberezebwa okubeera n’ekirwadde kya Marburg.

Akulira eddwaliro lino , Dr Cyprian Opira agamba omulwadde ono ayawuddwa ku balala nga bwebalinda ebinaava mu kukeberebwa.

Omulwadde ono yatwaliddwa mu ddwaliro lino nga alina obubonero bw’abalina Marburg nga omutwe ogubobba, omusujja, okulumwa mu lubuto okusesema n’embiro.

Abasawo bonna kati baweereddwa amagezi okwekapika ebiziyiza ekirwadde kino nga tebannakwata ku mulwadde yenna.

Omwezi oguwedde omusawo we Mengo yaffa ekirwadde kino nga n’abalala 5 bakyayawuddwa ku banaabwe.

Leave a comment

0.0/5