Bya Paul Adude.
Eby’embuuka ze nyonyi ku kisaawe Entebe bwegisanyaladde nga kino kiddiridde enyonyi eya Ethiopian Airline eyabadde ekakana ku kisaawe kino okuwaba okukakana nga eyise weyabadde erina okukoma.
Kati ekiwandiko ky’etufunye okuva mu kitongole ekikola ku mbuuka z’enyonyi ekya Civil Aviation Authirity kiraze nga enyonyi eno bweyawabye neyita weyabadde erina okusibira , wabula nga abantu bonna ababaadeko 139 tebaafunye mutawaana.
Vianny Luggya nga ono ye mwogezi w’ekitongole kino agamba nti buli kisoboka kikolebwa okulaba nga enyonyi eno egibwa ku kaguudo k’enyonyi weyasibidde kisobozese endala okukozesa ekisaawe kino.