Skip to content Skip to footer

Omusumba Yiga apondose

Pasita Augustine Yiga amanyiddwa nga abizaayo kyaddaaki apondoose n’awa omuwala gweyazalaamu omwana obuyambi.

Omuwala ono Brenda Nalubega alumiriza omusumba Yiga okumukaka omukwano n’amufunisa olubuto kko n’okumusiiga siriimu kyokka n’amusuulawo nga n’omwana tamulabirira.

Yiga ng’ayita mu mwanyina amanyikiddwako erya Nassozi awadde omuwala ono akakadde k’ensimbi kamu era n’ategeeza omuwandiisi wa kkooti enkulu Emanuel Baguma nti ku balaza ya sabbiiti etandiika wakuwereza akakadde akalala kamu n’ekitundu.

Era agasseeko nti mu ssabiiti yeemu ku lunaku olw’okusatu, ajja kumwongera emitwalo ataano ezinamutuusa ku nkomerero y’omwezi w’asuubirirwa okudda mu kkooti.

Pastor Yiga era yeeyamye n’okujjanjaba omuwala ono okutuusa lw’anatereera.

Leave a comment

0.0/5