Bya Sam Ssebuliba
Alipoota empya efulumizddwa aba unwanted witness Uganda, eraze nti waliwo okweyongera okunyigiriza abakozesa internet mu Uganda mu 2018 bwogerageranya nomwaka ogwayita 2017.
Okusinziira ku alipoota eno banamwulire bebasinze okunyigirizibwa nga bkola 80%.
Bano bankoddeyo emisango ku Dr Stella Nyanzi, omubaka wa munisipaali ye Mukono Betty Nambooze, banamwulire Richard Wanambwa, Darius Mugisah nabalala.
Bwanadde afulumya alipoota eno, akulira ebyemirmu mu kitongole, Unwanted Witness Dorothy Mukasa agambye nti amateeka ngerya computer misuses act, social media tax galina engeri gyeganyigirzaamu abantu.