Skip to content Skip to footer

Museveni w’akuzimbira abasiraamu ekiggwa ky’abajulizi

Bya Benjamin Jumbe

Omukulembeze we gwanga Yoweri k. Museveni asabye abayisiraamu, okumwegattako mu lutao lwaliko okwetoola egwanga okubunyisa engeri yokugagawala.

Omulanga guno agubakubidde akawungeezi akayise, bwabadde abasibulula mu maka gobwa presidenti Entebbe.

Agambye nti kawefube ono yetagisa buli omu kwetabamu.

Oluvanyuma lwokwemulugunya okuva ewa Mufti wa Uganda Sheik Shaban Ramathan Mubajje, ku bbey yakasooli epaluuse, Museveni agambye nti kino kiri mu mikono gyabalimi abenene, naddala abalima ku ttaka eddene.

Wano era yeyamye nga gavumenti bwegenda okubawagira, okuzimba ekiggwa kyabajulizi abasiraamu e Namugongo.

Leave a comment

0.0/5