Bya Ivan Ssenabulya
Abamu ba NRM e Mukono bambalidde banaabwe, abali ku kaada yekibiina abawagira, akamyufu akokusimba mu mugongo.
Banakibiina nga bakulembeddwamu omubaka we Buvuma Robert Migadde, bebavaayo nekiteeso kino, ng bagala abakulu mu kibiina bakirowozeeko.
Wabula twogeddeko ne Davis Lukyamuzi ngono kansala we Nagojje ku lukiiko lwa district ye Mukono ne Emmanuel Mbonnye spiika wa district nebabako byebatubuliira.
bano bagamba nti kino kiyinza okuletawo okugulirira abalonzi.