Ab’ekibiina kya FDC mu Kampala olunaku lwaleero batandise okulonda abakulembeze baabwe nga betegekera ttabamiruka w’ekibiina wiiki ejja
Omwogezi wa FDC John Kikonyogo agamba nti okulonda okutandikidde ku byaalo kujjumbiddwa.
Abo bonna abanaalondebwa beebagenda okwetaba mu kulonda abakulembeze b’ekibiina ab’okuntikko okuli ne ssabawandiisi
Abantu abasoba mu 970 beebasuubirwa mu ttabamiruka