Poliisi ekakkanya obujagalalo e Mubende eyitiddwa bukubirire okukakkanya abazadde saako n’abayizi ku somero lya Lwegula P/S ababadde bataamye obugo.
Kiddiridde omusomesa ku ssomero lino okwokya engoye z’abayizi 40 abaali mu kisulo mu lusoma lwa taamu esooka ng’abalanga kwambala leeya
Omusomesa ono ategerekese nga Sseresitini Baguma y’ataasiddwa poliisi oluvanyuma lw’okudda ku ssomero lino addemu okusomesa.
Ssentebe wa bazadde ku ssomero lino Abdul Kawuki ategezeezza nga bwebatagala musomesa ono kudda ku ssomero lino ate abasasule
Atwala ebyenjigiriza e Mubende Benson Kayiwa ategezezza nga bwebaludde nga banonya omusomesa ono nga kati bagenda kumuggulako emisango gy’okutwalira amateeka mu ngalo