
Kampala capital city authority olwaleero etandise okulamba oluguudo olunakozesebwa baasi ku luguudo lwa Jinjaroad.
Atwala ebyentambula mu KCCA Jacob Byamukama agambye nti baasi zijja kuba zikozesa oluguudo olusemba ku ma siteegi olwo enkalala ebbiri eza wakati zikozesebwe bi loole, aba Taxi, pikipiki, n’emotoka z’obuyonjo
Byamukama agambye nti bwebava ku luguudo lwa Jinja, bakudda ku Kampala road
Ono alabudde abo abayinza okulowooza ku kujeemera amateeka okutambulira mu nguudo zitali zaabwe nti bakukwatibwa
Twogeddeko ne ba dereeva ba Taxi abalayidde nti bino tebijja kukola nga bagamba nti nabo bantu ate basasula omusolo nga tebajja kugattibwa mu ba bulijjo, loole ne bodaboda