Enkuba eyamaanyi esse abantu basatu n’abalala 97 nebaweebwa ebitanda mu ddwaliro lye Butalejja
Enkuba eno emaze eddakiika nga ttanao zokka kyokka ngerimu omuyaga ogwa maanyi era etukkudde obusolya ng’enyumba ezisoba mu 150
Ezimu ku zikoseddwa kwekuli poliisi ye Busolwe , omuzikiti gwaayo n’essomero erimanyiddwa nga Mango Grove Junior School.
Abasatu abafudde babadde batudde mu ka wooteri akabayiikidde mu kabuga ke Busolwe
Ssentebe we Gombolola ye Busolwe Ali Wegulo agambye nti abakoseddwa batwaliddwa mu ddwaliro lye Mbale okwongera okufuna obujjanjabi
Mu bali ku bitanda kwekuli n’abayizi abawerera ddala 20 ab’essomero lya Mango Grove Junior School.
Wegulo awanjagidde ebibiina ebiddukirize ne gavumenti okubayamba kubanga ensonga ebasusseeko ng’abantu bangi kati tebalina webegeka luba