Bba w’omuyimbi Stecia Mayanja Abdu Mubiru asindikiddwa e Luzira
Abdu Mubiru alabiseeko mu maaso g’omulamuzi w’eddala erisooka ku kkooti ya Buganda road Joan Aciro.
Mubiru avunaanibwa kulya obukadde 45 okuva ku musuubuzi amanyiddwa nga Ronald Ddanze ng’alina okumuguza ettaka mu bitundu bye Lubowa kyokka n’atalimuwa .
Emisango gino yagiddiza wakati w’omwezi gwa October ne November 2014 mu bitundu bya kampala ebitali bimu.
Mubiru emisango agyegaanye era omulamuzi n’amuwa amagezi asabe okweyimirirwa okuva eri omulamuzi omukulu Lilian Buchana