Bya prossy Kisakye
Abakulembeze bobusiraamu, bagasse ku basaba gavumenti eyimbule abasibe mu makomera bebalanga ebyobufuzi, naddala abkwatibw amu kalulu ka bonna, akaliwo ku ntandikwa yomwaka guno.
Bwabadde akulembeddemu okusaala Eid ku kitebbe kyobusiraamu ku Kasozi Kampala Mukadde, Mufuti wa Uganda Sheikh Ramathan Mubajje agambye nti abantu bano betaaga okuweebwa eddembe lyabwe.
Agambye nti nabo betaaga okunyumirwa Eid ngabalala olwaleero.
Agambye nti kabonero ajja okwoleka okutabagana oluvanyuma lwomukulembeze we’gwanga okulayira ku kisanja ekyomukaaga olunnaku lweggulo.
Eri pikipiki zabanatu ezisoba mu 1000 ezakwatibwa akwungeezi kolokubiri, asabye nazo bazidize abantu.