Skip to content Skip to footer

Ebya Master Blaster biranze

File Photo:Omuyimbi Master Blaster abangi webamanyi nga teacher
File Photo:Omuyimbi Master Blaster abangi webamanyi nga teacher

Minisitule ekola ku nsonga z’ebweru w’eggwanga  egamba nti tennaba kufunako alipoota ya poliisi yonna ku ky’aba Sudan abagambibwa okutta omuyimbi Master Blaster.

Blaster yakubwa masasi abagambibwa okuba aba Sudan.

Kino kyavaako abantu be Bwaise okwekalakaasa nga bavumirira ekya gavumenti butabaako ky’ekola ku bantu abatta omuntu waabwe

Minisita w’ensonga z’ebweru w’eggwanga Henry Okello Oryem agamba nti tebasobola kutuuza gavumenti ya Sudan ku nsonag eno kubanga tebalina alipoota eraga nti abatta omuyimbi ono baali bava mu south Sudan.

Ono agamba nti bwebanafuna alipoota eno bakutandikirawo emirimu.

Leave a comment

0.0/5