Omubaka we Rukiga mu Lukiiko olukulu olw’eggwanga Jack Sabiiti yefudde ate n’ategeeza nga bw’agenda okwesimbawo mu mwaka 2016 yadde yali yasuubiza nti tadda
Ssabbiiti agambye nti abesimbyeewo bonna ba NRM nga tasobola kubalekera ntebe
Ng’akalulu ka 2011 kakaffwa, Ssabbiiti yalangirira nga bweyali awereeza ekisanja kye ekisembayo ng’omukulembeze w’eggwanga okusobola okuleka abavubuka nabo bakwate mu Kintu.
Ng’ayogerera ku leediyo emu e Kabale, Ssabbiiti yagambye nti teri muvubuka yavuddewo kwesimbawo okuva mu kibiina kye ate nga n’ekibiina kyenyini kikyamwetaaga
Mu balala abagaala ekifo kino kwekuli Edmand Atusasire, Herbert Kabafunzaki, Benson Arinaitwe, Moses Karugaba ne Wilber Sabiiti nga bonna ba NRM.