Skip to content Skip to footer

Endagamuntu ezisinga zigabiddwa

ID 2

Abantu obasoba mu bukadde 3 bebakafuna endaga Muntu, okusinzira ku minister omubeezi akola ku nsonga z’omunda mu ggwanga James Baba.

Bwabadde ayogerako eri banamawulire Baba agambye nti bakafulumya card obukadde 10 mu emitwalo 10 wadde ngabakagabako obukadde 3 mu emitwalo 10.

Baba wano wasinzidde ngasaba abantu mu district 38 egyebatandika okugaba endaga Muntu, okugenda okuzikima.

Akulira eby’endaga Muntu Hajji Abdu Nsubuga ategezezza nga abantu abasoba mu bukadde 16 bebewandiisa okufuna endaga Muntu.

Abatuuze mu kibuga kampala balina okutuuka nga 15 omwezi guno okukima endagamuntu zaabwe

Abantu abaweza akakadde kamu mu emitwalo 20 beebawandiisibwa kyokka ng’abali mu mitwalo 70 beebokka abakakimayo kaadi zaabwe.

Minisita omubeezi akola ku nsonga ‘omunda mu ggwanga James Baba agamba nti bano baweza ebitundu 73 ku kikumi abakakima kadi zaabwe era nga 15 w’etuukira, tebagenda kuddamu kugaba ndagamuntu

Baba agamba nti ate eri ababeera e Wakiso ne Mpigi nsalessale wa nga 30 omwezi guno.

Leave a comment

0.0/5