Omubaka we Rwampara mu lukiiko olukulu olw’eggwanga Vincent Mujuni Kyamadiidi akiguddeko, bw’alumbiddwa ekibinja ky’abantu b’agamba okuba abamulwana.
Kyamadiidi alumbiddwa bw’abadde asisinkanye abakulembeze mu gombolola Mwizi okubabangula ku nteekateeka za NRM okuwandiisa ba memba baabwe okugenda mu maaso.
Abalumbye Kyamadiidi babadde n’ensawo y’enjuki era olutuuse mu lukiiko nebaziyiwa olwo abalubaddemu nebabuna emiwabo
Atwala poliisi erawuna mu kitundu kino Richard Tamare akakasizza amawulire gano n’ategeeza ng’okunonyereza bwekugenda mu maaso.