Ab’ekibiina kya national alliance for change bagaala wasiibweewo gavumenti y’ekiseera enategeka okulonda okutaliimu kyekubiira
Nga bawaayo ebirowooozo byaabwe eri akakiiko ka palamenti akakola ku by’amateeka , akulira ekibiina kino Sam Lubega Makaku agambye nti pulezidenti Museveni alina okuva mu ntebe okusobozesa okutegeka okulonda okubaawo nga temuli mukono gwe omuwanvu era nga kino kirina okubaawo emyezi esatu ng’okulonda tekunnatuuka.
Ono era akuutidde akakiiko akalondesa obutabaamu kyekubiira mu ngeri gy’ekwatamu abavuganya ku bukulembeze bw’eggwanga.
Ab’ekibiina kya CP battukizza buto okusaba enkola ya federo
Ng’awaayo ebirowoozo by’ekibiina kino, akikulira John Ken Lukyamuzi agambye bagaala akawaayiro 178 kakyuse, ebitundu byonna biweebwe Federo.
John Ken Lukyamuzi agambye nti federo atambulira ku ddembe erya buli Muntu era asaanye okuwagirwa.
