Abasuubuzi mu katale ke Nakasero banyiivu olwakkooti okuyimbula abakulembeze b’akatale kano abatta munaabwe olw’empooza.
Kino kiddiridde omulamuzi Lillian Buchana mukifo ky’okubasomera ekibonerezo oluvanyuma lw’okubasingisa omusango gw’okutta mu butanwa ate okubayimbula balye butaala.
Omulamuzi Buchana agamba abavunaanwa bakkiriziganyizza n’abenganda z’omugenzi nebabaliyirira obukadde 10.
John Seruyinda eyali omusuubuzi mu katale kano yakubibwa ba sentala b’akatale kano n’afa lwampooza ya siringi 500.
Bano kuliko Wycliffe Kayiwa, Steven Asiimwe ne Dauda Busherere nga kati balya butaala.
Abasuubuzi bagamba kino ssikyabwenkya nga kale bandiweereddwa ebiboneerzo ebikakali.