Skip to content Skip to footer

Olukiiko lwa Buganda lutudde

File Photo: Olukiiko lwa Buganda
File Photo: Olukiiko lwa Buganda

Olukiiko lwa Buganda luzzeemu okutuula olunaku olwaleero okukubaganya ebirowoozo ku mbalirira y’omwaka gw’ebyensimbi ogwa 2015/2016.

Wiiki 2 emabega  embalirira ya buwumbi 8 yeeyasomebwa minisita w’ebyensimbi eva Nagawa, era ng’ensimbi ezisinga obungi zakuva mu Buganda land board, Nkuluze, emisolo ku masomero wamu n’amakubbo amalala.

Omukubiriza w’olukiiko lwa Buganda Nelson Kawalya agambye nti abakiise bakukubaganya ebirowoozo ku mbalirira eno ate oluvanyuma bagiyise.

Ono era agambye nti Katikkiro wa Buganda wakwogerako eri Obuganda nokutegeza olunaku omulimu gw’okuddabiriza enyanja ya Kabaka lwe gugenda okutandika.

Leave a comment

0.0/5