
Ekibiina ekirwanyisa obuli bw’enguzi mu ggwanga ekya Anti corruption Coalition Uganda kyaagala akakiiko aketengeredde katekebwewo okugereka emisaala gy’ababaka ba palamenti n’abakozi ba gavumenti abalala.
Kino kiddiridde ababaka ba palamenti okuyisa ekiteeso nga baagala bongezebwe pensoni n’ebitundu 30% .
Akulira ekibiina kino Cissy Kagaba agamba ababaka bano berowoozako bokka nga banji ku bannayuganda bakaaba olw’obwavu obubesibyeko nga olukokobo sso nga n’embeera y’ebyenfuna by’eggwanga eri bubi.
Kagaba agamba bagenda kutandika kawefube w’okuswaza ababaka ba palamenti bonna abaabadde emabega w’ekiteeso kino abalonzi baleme kubazza mu kulonda okuggya.