Skip to content Skip to footer

Katikkiro awabudde ku byobufuzi

Katikkiro wa Buganda owek. Charles Peter Mayiga asabye bannabyabufuzi okussa ekitiibwa mu nkola y’amateeka nga bagenda mu maaso n’okuwenja obululu.

Mayiga agambye nti obutakkaanya obuli wakati wa gavumenti, poliisi ssaako ne bannabyabufuzi abavuganya gavumenti  busobola kugonjolwa mu mbuga z’amateeka sso ssi kusika muguwa.

Mayiga era asabye bannabyabufuzi bulijjo okukitegeera nti bannayuganda basinga kwettanira mirembe okusinga ekintu ekirala kyona.

Mayiga okwogera bino kiddiridde okusika omuguwa okwalirwo wiiki ewedde wakati wa poliisi ne bannabyabuzi abaali bagaala okukuba enkungaana okuli eyali ssenkagale wa FDC Dr. Kiiza Besigye wamu n’eyali ssabaminisita w’eggwanga nga John Patrick Amama Mbabazi.

Mu ngeri yeemu Katikkiro Mayiga asabye olukiiko lwa Buganda okutema empenda okulaba ng’enyingiza ya Buganda yeyongera.

Minisita wa Buganda ow’ebyensimbi Eva Nagawa yasomye embalirira ya Buwumbi 8, Kyokka Mayiga agambye nti embalirira eno erina okukubisibwa emirundi 2 mu mwaka gwa 2016/ 2017.

Mayiga agambye nti abantu ba Ssabasajja batunuulidde Buganda okubabbulula mu bwavu, okutumbula eby’enjigiriza, eby’obulamu wamu n’okubakwatizaako mu ngeri endala.

Leave a comment

0.0/5