Poliisi ekyaddaaki ekkiriza kampeyini z’abesimbyeewo ku kukwata bendera ya FDC okugenda mu maaso.
Kiddiridde enkiiko ezitali zimu wakati wa bannamateeka ba FDC ne poliisi oluvanyuma lwenkiiko za Dr Kiiza Besigye ezasooka okugwa obutaka
Akulira akakiiko akalondesa mu FDC Dan Mugarura agamba nti nga bamaze okukwatagana ne poliisi, tebasuubira kutataganyizibwa kwonna.
Mugarura agambye nti abesimbyeewo okuli Dr Kiiza Besigye ne gen Mugisha Muntu balina omulimu gw’okukyusa mu pulogulaamu zaabwe okwewala okukyusa mu ttabamiruka atandika nga 1 omwezi gw’omwenda.
Yyo poliisi ewakanyizza ebigambibwa nti erimu kyekubiira mu kukola emirimu gyaayo.
Ssabbiiti ewedde, Ssabaminisita Amama Mbabazi ne Dr Kiiza Besigye bagaanibwa okutuuka ku bantu mu kikolwa ekijjeemu abantu ebisongovu nga bagamba poliisi eyitiriddemu ebyobufuzi.
Omwogezi wa poliisi Fred Enanga agambye nti enkiiko zombie tezaali mu mateeka nga Mbabazi ekibiina kye kyekyamulemesa ate yye Besigye teyatuukiriza byogera mateeka ga kukuba nkiiko nti poliisi erina okugaba olukusa eri oyo ategese
Police not partisan—–lug
Mu ngeri yeemu , kkooti e Mukono etandise okuwulira emisango gy’abavubuka musanvu abakwatibwa ssabbiiti ewedde.
Omusanvu bano abakulemberwa Andrew Karamagi ogubalangibwa gwakwogerako eri bannamawulire nga tebafunye lukusa lwa poliisi.
Beeyimiriddwa ku kakali ka kkooti ka mitwalo 20 eza buliwo ezisasuddwa omubaka Betty Nambooze ate ababeyimiridde nebalagirwa okusasula obukadde butaano naye nga ssi zabuliwo.
Omulamuzi omukulu Agnes Nkonge omusango agwongezezzaayo okutuuka nga 12 omwezi ogujja.