Skip to content Skip to footer

Abaana basumattuse omuliro

Abaana basatu basumattuse okufiira mu muliro ogukutte enyumba mwebabadde beebase

Abaana abataasiddwa kuliko Fauza Nasuna ow’emyezi 6, Salima Nakisekka ow’emyaka 2, ne Akram Suna.

Akabenje kano kabadde ku kyaalo Kirebe , lwebitakuli mu disitulikiti ye Sembabule mu maka ga Sulaiti Byekwaso.

Byekwasa agamba nti omwana omukulu Ssuna y’akolerezza akataala okunoonya engoye ze kyokka negazigwaako olwo negukoleera era nga gukwatiddemu n’akatimba k’ensiri.

Omwogezi wa poliisi mu bukiikaddyo bw’eggwanga Noah Sserunjogi akakasizza amawulire gano n’ategeeza nga bwebayambiddwaako abatuuze okukola kino

Leave a comment

0.0/5