Omugoba wa Bodaboda gwebabbyeeko pikipiki ye ate asanze mukama we atasaga n’amutungulamu enjala ng’amulanga bulagajjavu.
Abdu Kayondo asangidwa mu ddwaliro e Mulago nga talina njala mu bigere agamba omusajja yamupangisizza amutwale e Manyangwa wabula bwebatuseeyo namusalira amagezi okukkakkana ng’amubbyeko Boda empya nga bwanyonyola.
Kitegerekesse nti guno mulundi gwakubiri nga Kayondo bamubbako Boda nga n’ogwasooka omusabaaze yamulimba nti mwanyina mulwadde ajje amuyambeko bamusitule mu nju.