Skip to content Skip to footer

gwebaakuba omusumaali mu mutwe tannalongoosebwa

Omusajja eyakubwa  omusumaali ogwa Yinki 6 mu mutwe embeera ye ekyaali mbi nyo nga negyebuli kati omusumali tegunajjibwamu.

Ismael Yahaya  asangiddwa ku ward ya 3b avaamu amaziga amayitirivu agalaga obulumi bwamanyi bw’alina yadde nga tasobola kwogera.

Twogeddeko ne nyina  Florence Nakisozi n’ategeeza nga bwezandiba enkayaana z’ettaka era ng’abasawo baakizudde nti ono okumukuba omusumaali mu mutwe basooka kumukuba kalifoomu.

Yahaya ow’emyaka 45 yasangibwa mu kisenge kye e Ntinda Kunjegoyego za Kampala ng’avaamu omusayi omuyitirivu wabula bwebeyongera omwekebejja basanga akubiddwa omusumaali mutwe.

Leave a comment

0.0/5