Abayisiraamu basabiddwa okusula nga basaba nga balindirira ekiro ky’amagero ekya Lailatul Khadir.
Ekiro kino kibeera mu nnaku z’ensunsuuba ebisembayo ekkumi mu kisiibo nga kati abantu balina okunyikiza okusaba ekiro kyaleero n’ekyo ekya 29.
Omuntu ekiro kino gwekisanga ng’ali ku kigambo kya Allah ebirungi by’afuna bya myaka 80
Imaama w’omuzikiti gwa kampala mukadde Sheikh Imran Ssali agamba nti ekiro kino ekya Lailatur Kadhir kisinga emyezi lukumi