Omusajja eyakubwa amasasi abasajja abatta eyali omwogezi we Kibuli Sheikh Hassan Kiirya ayagala kumuliyirira
Daniel Okim yakubwa amasasi mu mukono mu kavuvungano akaaliwo ng’abazigu bano batta Sheikh Kiirya e Bweyogerere.
Ab’enganda z’omusajja ono aludde nga taliiko ayamba mu ddwaliro e Bweyogerere olwaleero baddukidde eri ssenkaggale wa poliisi gen Kale Kaihura nga bagaala buyambi.
Omwogezi wa poliisi mu Kampala n’emiriraano Patrick Onyango bano abasabye okusigala nga bakkakkamu nga poliisi bw’ekola ku nsonga zaabwe.
Kiddiridde Gen Kaihura okukubagiza aba famire ya sheikh Kiirya n’abawa n’amabugo bweyabadde agenze okubakyalirako.
Onyango agambye nti Gen Kaihura okugabira aba famire ya sheikh Kiirya ssente yakikoze ng’omuntu sso ssi nga poliisi.
Sheikh Kiirya yakubwa masasi wali e Bweyogerere