
Abagaba emirimu basabiddwa okuwa abayizi ababa bakatikiddwa omukisa okukolera mu makampuni gaabwe yadde nga tebalina bumanyirivu ku mulimu guno.
Okusaba kuno kukoleddwa ssabalabirizi w’ekkanisa ya Uganda kitaffe mu katonda Stanley Ntagali mu kutikkira abayizi ku yunivasite ya Uganda Christian University e Mukono.
Ntagali ategezezza nti abavubuka bangi batikkiddwa zi diguli wabula baasigaza bikoofira olw’abakozesa okwagala okukozesa abo abalina obumanyirivu bokka.
Ku mukolo gwegumu amyuka ssenkulu wa banka enkulu Louis Kasekende akubirizza abaakatikkirwa obutaggwamu ssuubi nga tebanafuna mirimu.
Kasekende ategezezza nti abavubuka bangi abaweddemu essuubi beebo abeetaba mu bikolwa ebimenya amateeka.
Abayizi 1,321 beebatikiddwa mu masomo ag’enjawulo okuli abaasoma ebyamawulire, obusomesa n’abalala.