Ab’ekibiina kya NRM bakasolooza obukadde 250 mu nsimbi zebajja mu bannakibiina abewandiisa okwesimbawo.
Ku zino obukadde 202 zivudde mu abo abagaala okwesimbawo okukiika mu palamenti ate 24 zivudde mu ba ssentebe ba zi disitulikiti.
Akulira akakiiko akalondesa aka NRM Dr.Tanga Odoi agambye nti kino kyongera okunyweeza ekibiina nga kyetegekera akalulu ka 2016.
Odoi era agambye nti abasinze okuleeta ssente beebesimbawo ogusooka kale nga kiraga nti ssente ssi nyingi nnyo nga bwebibadde byogera.
Yye omubaka omukyala owe Sembabule yoomu ku bajjeeyo foomu olwaleero n’alumba abagamba nti talina buyigirize
Kawooya kati myaka 15 ng’alwana n’abamugamba nti teyasoma kyokka ng’abawangula.
Kawooya ku luno abalabuliddewo nti bamuyisizza dda mu kasengejja kale nga tayagala bantu kuddamu kumwesimbamu.