Bya Benjamin Jumbe,
Abalwanirizi be ddembe bekokodde embera eyokwagala okubatulugunya eyalabibwako omwaka oguwedde
Bano okuvaayo bwebati nga ne gavt gye buvudeko yateeka envubo ku akawunti ze bibiina byobwannakyewa ku bigambibwa nti baali bawagira ebikolwa ebyobutujju
Akulira ekibiina kya Foundation for Human rights Initiative Dr Livingstone Ssewanyana,asabye mu mwaka omuppya guno wabeewo okukwatagana nokuwangana ekitiibwa wakati waabwe ne gavt
Era agambye nti wasaanye nokubaawo okunonyereza ku bibogerwako naddala ebyokuteeka ensimbi mu batujju mu kifo kyokubatekako olugunya
