Bya Ssabiiti Magembe,
Bannadiini mu district ye Mubende bakubiriza abantu bona abaweza emyaka egironda okwenyigira mukulonda abakulembeze bebagala nga essira baliteeka kwabo bokka abatya Katonda era nga bassa ekitibwa mu ddembe ly’obuntu saako okuba nga tebenyigira mu bikolwa eby’obuli bwenguzi nga kino kyakuyamba okufuna abakulembeze abalungi.
Faaza Muwonge Anthony nga yakulembedemu missa yokwaniriza omwaka omuggya ku kigo kya Our Lady of Fatima Mubende parish ategezezza nga eggwanga bweryetaaga abakulembeze abateeka ekitibwa mu ddembe ly’obuntu era nga batya Katonda bwatyo nasaba abantu okuuma emirembe mu biseera eby’okulonda.
Ate ye pasita Allan Ssewanyana akulira ekanisa ya Victory life restoration church akinoganyiza nga omwaka guno bwegugenda okubeera ogw’obuwanguzi yadde nga wakyaliwo okusomozebwa kwe kirwadde kya Covid-19 era nga naye akubiriza abantu nebitongole ebikuuma ddembe okuuma emirembe mu biseera eby’okulonda.