Bya Moses Kyeyune
Akakiiko ka palamenti akaatekebwawo okunonyereza ku baagabana obuwumbi oluvanyuma lwa Uganda okuwangula omusango gw’amafuta mu Bungereza olowaleero lwekanja alipoota.
Alipoota eno y’abadde yakusomebwa olunaku lw’eggUlo wabula obudde tebwamaze.
Mu alipoota eno, akakiiko kaasazeewo abakungu ba gavumenti bonna abaalyako yadde ekikumi bazizze mangu kubanga obuwumbi 6 zaali nsimbi zamuwi wamusolo.
Alipoota eno ey’e,papula 95 yakwanjibwa omubaka we Bugweri MP Abdul Katuntu nga era ye ssentebe w’akakiiko akaatekebwawo okunonyereza ku baagabana ensimbi zino .
Abalina okuzza ensimbi zino kuliko Doris Akol nga y’akulira ekitongole ekiwooza ky’omusolo nga y’alya obukadde 242m, eyali ssabawolereza wa gavumenti Peter Nyombi eyalya obukadde 226 Nankulu wa Kampala Jennifer Musisi eyalya obukadde 121 n’abalala.