Bbo bannamateeka ba gavumenti bali mu nteekateeka zakuteeka wansi bikola lwamusaala mutono gwebafuna.
Ssentebe w’ekibiina ekigatta bano Baxter Bakibinga agamba olwaleero bannamateeka bokka abakolera mu byalo bebatagenda kukola kubanga balina okujja mu lukungaana lwabwe olwenkya okusalawo ku kediimo kaabwe.
Wabula bbonna abali mu kampala balina okugenda mu kkooti okuwoza olwo ku lwokutaano bonna teri kulinya mu kkooti nga bateesa oba bagende mu maaso n’okwediima oba nedda.