Bya Prossy Kisakye,
Sentebe wá kakiiko akataba ebakkiririza mu yesu kristu aka Uganda Joint Christian Council (UJCC), era nga ye ssabasumba we ssaza ekkulu erya kampala, Dr Cyprian Kizito Lwanga, awolereza okusaba kwabwe eri gavumenti okwongezaayo okulonda
Akakiiko kano omwegatira enzikkiriza satu okuli aba katoliki, abaseventh day nábapolotesitanti, okuyita mu lukungana lwa bannamawulire ssabiiti ewedde basaba gavumenti eyongezeeyo okulonda okumala emyaka esatu nga bagamba nti ekirwadde kya covid kyongedde okubuna eggwanga
Dr. Lwanga yategeeza nti okwenyongera kwekirwadde kivudde ku nkungana ze byobufuzi ezikubwa mu kaseera kano mu kwetegekera okulonda okugenda okubaayo nga 14th January kyokka nga bannabyabufuzi nábawagizi baabwe balemereddwa okugoberera ebiragiroebyayisibwa mu kwekuuma ekirwadde.
Ebigambo bya ssabasumba tebyayanirizibwa bannabyabufuzi nábakwatibwako ensonga ezebyokulonda nga mwotwalidde ne bannaddiini abamu era ne bamunenya obutasooka ku bebuuzako
Wabula Lwanga agambye nti kyali tekyetaagisa kusooka ku beebuuzako kuba baali bamaze okukanya nga abakakiiko ne kigendererwa ekyokutaasa bannauganda obutafa kirwadde