
Omu ku bavunaanibwa okutega bbomu ezatta abantu mu mwaka 2010 yegaanye sitatimenti gyeyakola ng’akkiriza okuzza emisango.
Habibu Sulaiman Njoroge ategeezezza omulamuzi Owiny Dollo nti yatendewalirwa n’akkirizza emisango oluvanyuma lw’okutulugunyizibwa
Njoroge agambye nti basooka kumukaka kunywa mazzi olwo nebalinda ng’ayagala kufuuyisa nebamusiba akaveera ku busajja era nebamugaana okufuka
Ono agamba nti wano webamuweera sitatimenti eyali ewandiikiddwa ng’erindiridde mukono gwe era wakati mu bulumi n’assaako omukono.
Njoroge agambye nti naye Muntu nga yali takyasobola kugumikiriza.
Ono agambye nti bamumma emmere okumala ennaku ssatu kyokka nga lwyagirabako, basunira ku kawunga nebamuwa n’ebijanjaalo 29 kubanga yali wa myaka 29 n’ekigendererwa ky’okumulumisa enjala.
Enkya ya leeto, omupoliisi Onen Ochan ategeezezza kkooti nti yeeyawandiika sitatimenti eyakolebwa Njoroge
Omusango guddamu olunaku lw’enkya.