Abakulira ekitongole ekigaba endaga Muntu basabiddwa mu ggwanga basabiddwa okuvaayo n’enkola enayamba okuwandiisa bannayuganda abali emitala w’amayanja.
Ekitongole kino kizze kitekebwa ku ninga okuwandiisa abantu bano nabo bafune endaga Muntu z’eggwanga.
Wabula minisita w’ensonga zomunda mu ggwanga Gen Aronda Nyakairima agamba eteeka eriliwo mu kiseera kino teribasobozesa kukola kino.
Wabula asabye abakola ku nsonga eno okufuna engeri gebaggye okukwasaganya ensonga eno bannayuganda abali ebweru w’eggwanga nabo bafune endaga Muntu zino.