
Eyali akulira ekibiina kya FDC Dr Kiiza Besigye atandise na maanyi kampeyini ze ng’ayagala abantu bamulonde okukwata bendera y’ekibiina.
Besigye eyabadde ayambadde ekanzu yasookedde Kasangati gyeyayaniriziddwa era n’akwasibwa effumu n’engabo omukwagaaliza olutabaalo olulungi
Yeeyongeddeyo ku growers e Bwaise ng’eno gy’asinzidde n’asaba poliisi okussa nnyo amaanyi ku nsonga enkulu mu ggwanga mu kifo ky’okubalinnya akagere.
Besigye agambye nti kyannaku nti nga poliisi erondoola bbo ebintu ng’ettemu byeyongera bweyongezi mu ggwanga era ng’asonze mu ttemu erikolebwa ku basiraamu ennaku zino
Asabye poliisi okuvaayo ne alipoota ku ttemu lyonna erizze libaawo.
Yye Gen Mugisha Muntu wakutandikira Hoima ku lw’okuna nga naye ayagala Bendera ya FDC