
Bannabyabufuzi ab’oludda oluvuganya gavumenti balabudde poliisi okwewalira ddala okweyingiza mu by’obufuzi.
Kino kizze wakayita olunaku lumu lwokka nga poliisi kyeggye ewere ekibinja ky’abavubuka ekyatongozeddwa loodi meeya Erias Lukwago okwanganga abavubuka abakubi ba kibooko abatendekebwa Kakooza Mutale.
Omubaka wa Jinja East Paul Mwiru alumiriza poliisi okubeeramu kyekubirira nga yewunya lwaki bbo aba Kakooza Mutale aba Kalangala Action Plan tebagambibwako sso nga emirimu gyegimu.