
Abagoba ba BodaBoda e Mukono bakukulumidde poliisi nekitongole ekinonyereza ku buzzi bwemisango nti tebakoze kimala, ekiviriddeko okutwalira amateeka mu ngalo okweyongera.
Mu gandaalo lya Sabiiti aba Bodaboda bakakanye ku banaabwe babiri e Mpatta ne Nakisunga ne babatta mu bukambwe nga babalumiriza okwekobaana okubba pikipiki zaabwe.
Ssekyanzi Emmanuel omu ku bakulira aba Bodaboda e Mukono abadde ayogerako ne banamawulire, kino akitadde ku kitongole kya CID nti babawa amawulire ku babba pikipiki naye tewali kyebakolawo, nabakwatibwa bamala nebabayimbula