Skip to content Skip to footer

Gavumenti ya’kulongoosa ebyenjigiriza-Mande

File Photo: Abayizi nga basoma
File Photo: Abayizi nga basoma

Nga gavumenti akyasala entoto ku ngeri y’okulongoosa ebyenjigiriza mu ggwanga, abakugu mu byenjigiriza bategezezza nga bingi bwebirina okukolebwa okutereeza embeera.
Gavumenti y’ateddewo etteeka amasomero obutasukka ssaawa 11 nga basomesa abayizi okubawa ekiseera okuwummulamu.
Eyali ssentebe w’ekitongole ky’ebyebigezo mu ggwanga Fagil Mande ategezezza nga amasomero agamu bwegasomesa obusomesa abaana okuyita ebigezo awatali kubabangula olwo oluva mu masomero nebadaaga n’ekyokukola.
Mande ategezezza nga abakulira ebyenjigiriza ku zi disitulikiti bwebatakyalambula massomero olwo ebyenjigiriza nebisereba awatali agamba.
Bino abinyonyodde abawereza pulogulamu ya twezimbe amakya galeero.

Leave a comment

0.0/5