File Photo: Abayizi nga basoma
Nga gavumenti akyasala entoto ku ngeri y’okulongoosa ebyenjigiriza mu ggwanga, abakugu mu byenjigiriza bategezezza nga bingi bwebirina okukolebwa okutereeza embeera.
Gavumenti y’ateddewo etteeka amasomero obutasukka ssaawa 11 nga basomesa abayizi okubawa ekiseera okuwummulamu.
Eyali ssentebe w’ekitongole ky’ebyebigezo mu ggwanga Fagil Mande ategezezza nga amasomero agamu bwegasomesa obusomesa abaana okuyita ebigezo awatali kubabangula olwo…
