Eyali meeya w’ekibuga kampala Alhajji Ntege Sebaggala alekulidde omulimu e eky’okuwabula pulezidenti Museveni.
Ssebaggala yalondebwa okuwabula pulezidenti Museveni oluvanyuma lw’obutakakasibwa nga minisita olw’empappula z’obuyigirize.
Ng’ayogerako eri bannamawulire, Sebaggala agambye nti mu bbanga ly’amaze ng’awabula pulezidenti Museveni tewali kikyuuse kale nga talaba lwaki asigala ku kifo kino.
Ono era yetondedde abavuganya olw’okuwaba.
