Yadde nga gavumenti yayongezzaayo nsalesale w’okuwandiisa kaadi z’amassimu, ab’oludda oluvuganya gavumenti bagamba ennaku neera zetaaga okwongezebwayo okusinga kwezo ezalambikiddwa.
Gavumenti yasazizzaamu nsalesale wa nga 20 April okugyako amassimu g’abo abataaziwandiisa okutuusa nga 19 May wabula ab’oludda oluvuganya gavumenti bagamba ennaku zino zikyali ntono ddala.
Omwogezi w’ekibiina kya FDC Ibrahim Ssemujju Nganda agamba okusooka yali nsobi okuwa nsalesale wa wiiki emu ga era ensobi yeemu ediddwamu kale nga gavumenti yandifubye kulaba nti buli omu afuna endaga Muntu ssikutiisatiisa kugyako massimu g’abantu.
