Bya Abubaker Kirunda
Poliisi ye Mayuge eriko omulambo gw’omusajja ow’emyaka 52 gweguddeko wabula nga omutwe gwatemeddwako.
Entiisa eno ebadde ku kyalo Mugiri mu gombolola ye Mpungwe
Ekiwuduwudu kya Musa Magumba kisangiddwa mu musiri gwa muwogo.
Omukyala abadde agenze okulima y’agudde ku mulambo n’alaya enduulu esombodde abalala
Akulira okunonyereza ku buzzi bw’emisango ku poliisi ye Mayuge Abdallah Nasser Mulimira ategezezza nga abantu 3 bwebakwatiddwa ku byekuusa ku ttemu lino nga era bakyanonyereza.
Omugenzi y’ali yabula okuva nga 8 March nga era ab’oluganda bazze bamunonya okutuusa lwebagudde ku mulambo gwe nga tekuli mutwe.
Mugiri kyalo gombololoa yrmbungwe