
Poliisi mu disitulikiti ye Lira eliko pasita omukyala gwekutte lwakubba ssente n’ebintu ebirala okuva eri endigaze.
kigambibwa nti y’afeze Betty Opito ow’emyaka 40 n’atwala ebintu byo munyumba byonna ne ssente nga amusuubizza emikisa n’okumubudabuda oluvanyuma lw’okufiirwa bba.
Opito y’ategezezza poliisi nga pasita ono bweyatutte pikipiki ya bba, generator, emifaliso, TV n’ebirala n’ategeeza nga bweyabadde alina okubyokya okugoba ebisiraani n’emizimu.
Wabula oluvanyuma abatuuze batemyeza ku Opito nga paasita bwataayokyeza bintu bino wabula nga y’abadde anonya babigula.
Namwandu y’avudde mu mbeera neyekubira enduulu ku poliisi eyakutte pasita ono nebamugulako gwabubbi n’okufuna ebintu mungeri y’olukujjukujju.