By Abubaker Kirunda
Laddu ekubye omuntu omu n’emuttirawo mu disitulikiti ye Buyende.
Omugenzi ategerekese nga Van Moningi omutuuze ku mwalo gwe Bumogoli mu gombolola ye Buyende.
Omugenzi laddu okumukuba abadde agabula bakasitooma be caayi.
Ssentebe w’abavubuka ku muluka gwe Bumogoli Richard Gumula ategezezza nga omugenzi bw’abadde nanyini kiriiro ky’emmere ekimu ku mwalo guno.
Omulambo gutwaliddwa mu ddwaliro okwongera okwekebejebwa
Poliisi tenaba kubaako kyeyogera ku nsonga eno.