Omuntu omu afiiriddewo oluvanyuma lw’amataba okweera taxi wali mu bitundu bye Mbale.
Amataba gasoose kweera lutindo lwe Gadumire olwo taxi oluzze nayo nelugenderamu.
Taxi eno namba UAU 808U y’eguddemu nga era n’abalala abawerako babuuse n’ebisango ebyamanyi wabula nga tebanamanyika muwendo.
Omusasi waffe Mudangha Kolyangha atutegezezza nga omugenzi y’abadde agezaako okubuuka mu taxi eno amataba negamweera.
Mu kiseera kino oluguudo oluva e Mbale okudda e Tirinyi lusaliddwako .
Bbo aba Bodaboda bali ku mudido nga era ebisale by’entambula mu kitundu kino bipaluuse .
Poliisi ereese bulekedawuni okusikayo taxi eno okuva mu kiwonko gyeyagudde.