Bya Shamim Nateebwa
Ssabasajja asiimye abantu abali eyo mu mitwalo 13 abebibanja abawandiisibwa bawebwe ebyapa mu nkola etuumidwa kyapa mu ngalo nga ensimbi zisalidwako ebitundu 200%nga enkola eno ekoma mumwezi gwa 10
Bw’abadde atongoza enkola eno, Katikiro wa Buganda Charles Peter Mayiga ategezezza nga kino bwekigenda okwongera enkolagana wakati w’obwakabaka bwa Buganda n’abali ku ttaka lino wamu n’okusiima ebirungi abantu ba ssabasajja byebakoledde Namulondo.
Katikiro agamba Ssabasajja Kabaka wa Buganda Ronald Muwenda Mutebi II yakizudde nti enkaayana z’ettaka zivudde ku bantu butaba na byapa kale nga kyekiseera bino byonna okubimalawo nga abantu be bafuna ebyapa bino.
Akulira ekitongole kya Buganda ekikola ku nsonga z’ettaka ekya Buganda Land Board,abewandiisa gyebuvuddeko ettaka lyabwe neritaputibwa bebagenda okuganyulwa mu nteekateeka eno nga omuntu asobola okufuna ekyapa kya liizi ku ttaka ya myaka ena
